Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Abayambi ba Sejusa bakaligiddwa emyaka 15

July 18, 2016 · Mubiru Ali

Kooti y’ekinnamagye etuula e Makindye mu Kampala  olwaleero esalidde abayambi ba eyali akulira ebitongole ebikessi General David Ssejusa ekibonerezo kya kumala mu nkomyo emyaka 15.

Abasajja bano abawerera ddala 6 nga ennaku z’omwezi 5 omwezi guno ogwomusanvu baasingisibwa omusango gwokugezaako okumaamulako Gavumenti kooti y’ekinnamagye ekulirwa Lt. Gen . Andrew Gutti .

Obujulizi obuluma abasajja bano bulaga nti wakati w’omwezi ogwokuna n’ogwokutaano 2013 baawandiika abaserikale okuva mu kitongole kya Special Forces Comand Unit n’okutuuza enkiiko  mu bitundu by’e Ssekanyonyi mu Disitulikiti ye Mityana  ku biragiro bya General Ssejusa ne Gen. Benon Biraro n’ekigendererwa eky’okumaamulako Gavumenti nga basinziira ku mawulire nti Museveni ayagala kusikiza mutabani we Gen . Muhoozi Kainerugaba ku ntebe y’obwa Pulezidenti

Abakaligiddwa bali Cpl. Grace Nasasira, Cpl. Godfrey Karuhanga, Frank Ninsiima, Moses Nuwagaba , Abel Twinamatsiko ne James Nayeb .

Wabula Puliida waabwe David Mushabe awakanya ensala eno era agamba nti egenda kujulira .