Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,315 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Abaweebwa ssente okusima ebidiba e Karamoja ne Teso bazirya

October 27, 2023 · Mubiru Ali
Ababaka abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’obulimi bawuniikiridde bwebakizudde nti waliwo ebiddiba wamu ne ttanka z’amazzi ezomubiwonvu by’e Karamoja ne Teso sub-regions ebyalina okusimibibwa tebyasimibwa yadde nga Gavumenti yawaayo obuwumbi bw’ensimbi okubizimba okusobola okutumbula ebyobulimi mu bitundu bino.
Ssentebe w’akakiiko kano Hon. Janet Okori-Moe ategeezezza nti okugeza dam ya Paylong eyalina okuyamba abantu b’e Kotido eyalagibwa nti yasimibwa teriiyo. Ono agamba nti basanzeeyo ekiddiba ekirimu omuddo nga kino kyazimbibwa Minisitule y’amazzi.
Ono agamba nti ne mu Disitulikiti y’e Abim basanzeeyo kinnya ekitamalirizibwa era tekyakwasibwa Disitulikiti.