Breaking
News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku St Mark High School e Kayunga. News: Okutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya kwaleero nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga Bugerere. Okuyingira News: Program Gasimbagane ne Bannamawulire mwebakwatidde Charles Rwomushana olwaleero, ekusubye?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 134 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Abawagizi ba Eng. Ian Kyeyune bagaaniddwa okulonda

September 11, 2020 · Mubiru Ali
Akamyuufu ka

National Resistance Movement – NRM

e Wakiso kazeemu omukoosi oluvannyuma lw’omu ku bavuganya ku kifo kya Ssentebe wa LC 5 Eng. Ian Kyeyune wamu n’abawagizi be okugaaniddwa okuyingira mu kifo webalina okulondera ekya Zimbena Gardens ekisangibwa mu Nabweru South Cell I nga wano ne Eng. Kyeyune walina okulondera.

Bano okugaanibwa kigambibwa nti tebali mu nkalala z’abalonzi. Wabula Kyeyune agamba nti lino lyandiba ekkobaane ne bavuganya nabo nga begasse ne Ssentebe w’ekyalo Dorothy Nankya okwagala okubba akalulu.