Breaking
News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe News: Abanoonyi bobuddamu bakedde kwekalakaasiza ku kitebe kyAmawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku banoonyi bobuddamu ekya United Nations High
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 136 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abavuzi b’ebimotoka by’emigugu bazinzeeko Wofiisi ya RDC – Mubende

July 21, 2016 · Mubiru Ali

Omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti ye Mubende atuuyanidde mu Yafeesi ye enkya ya leero abavuzi b’ebimotoka ebyettissi by’emigugu bwebasazeeko Yafeesi ye .

Bano okumulumba kiddiridde emmotoka zaabwe okuwalulwa ne ziggyibwa webabadde bazisimbye mu kifo webakolera ne zitwalibwa ku CAWODISA ekifo ekyateekebwawo ekusimbamu emmotoka enneetissi ekya UPDF e Mubende .

Beyunga asanze akaseera akazibu okunyonnyola wamu n’okuwooyawooya abantu bano ababadde beeridde omuguju nga bagumbye ku Yafeesi ze .

Ye amyuka Ssentebe w’ekibiina ekigatta abagoba b’emmotoka zino ekya Tukolere wamu Mubende Dealers Co-operative Society William Kawere ategeezezzza nti ekibaggye mu mbeera be basirikale ba UPDF ne Police e Mubende okuwalula emmotoka zaabwe nebazitwala ku CAWODISA ekiviiriddeko n’ezimu okwonooneka kuba zaabadde zitisse ย .