Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 741 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abavuzi ba Ssipeso basannyalazza eby’entambule e Kawempe

August 22, 2017 · Mubiru Ali

Abavubi ba “Special”  e Bwayiise mu Disizoni y’e Kawempe basannyalazza ebyentambula ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu  bwebatudde mu luguudo wakati nga bawakanya eky’abakwasisa amateeka mu KCCA nga bali wamu ne Police okubagaana okukolera mu kibangirizi kya UNRA ekiriraanye kkampuni y’emifaliso eya Turf form eri ku luguudo mwasanjala luno. 

Abantu bano boogeddeko ne radio simba nga bagamba nti gyebuvuddeko baali bakolera okuliraana essundirio ly’amafuta erya Shell naye oluvannyuma lw’okukolawo oluguudo, bwebatyo nebakyusibwa Meeya wa Divizoni y’e Kawempe Emmanuel Sserunjogi Ow’eddembe n’abazza mu kibangirizi kya kya UNRA ekyo ekyogerwako eky’oluguudo.

Wabula kibabuuseeko enkya ya leero nga abakwasisa amateeka mu KCCA ne Police babagobaganya okwamuka ekifo kino ku biragiro bya Town Clerk, Wabula Meeya Sserunjogi ayanguye okutuuka mu kifo kino era n’abakakasa nga bwebagenda okugira nga basigala mu kifo kino nga bw’abanoonyeza ekifo eky’enkalakkalira mwebanaakakkalabiza  emirimu gyabwe .