Breaking
News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 392 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abavunaanibwa okutta owa Monitor babasindise Kigo

May 18, 2018 · Mubiru Ali

Abavunaanibwa okutta eyali omukozi mu kkampuni ya Daily Monitor, Abel Katende, eggulo (Olwokusatu) baasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo gye banaggyibwa batwalibwe mu kkooti.

Bano kuliko nnamwandu w’omugenzi, Janet Namugenyi 52 n’abaana b’omugenzi okuli Gideon Kaaya (18) ne Lillian Najjuma (29) nga bano kigambibwa nti be baali mu lukwe lw’okumutta. Bano baatuusiddwa ku kkooti e Wakiso ku ssaawa 3:00 ez’oku makya era nga ku ssaawa 6:00 baatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi omukulu owa kkooti y’e Wakiso, Dorothy Lwanga wakati mu bukuumi obw’amaanyi eri abaserikale b’amakomera.

Omulamuzi Lwanga yabasomedde omusango guno era oluvannyuma n’ababuuza obaomusango ogubasomeddwa bagutegedde. Nnamwandu Namugenyi yategezezza nti eby’ogeddwa abitegedde era omulamuzi teyabakkirizza kwewozaako n’abasindika mu kkomera e Kigo okutuusa nga May 30, 2018 lwe bagenda okukomezebwawo.

“Eno kkooti terina buyinza buwozesa musango guno era kkooti Enkulu yokka y’erina obuyinza okubawozesa nga mu kino mbasindise ku limanda e Kigo gye munaavanga okuleetebwa mu kkooti okutuusa nga poliisi ekuηηaanyizza obujulizi bwonna obukwata ku musango guno olwo mutwalibwe mu kkooti Enkulu.” Omulamuzi Lwanga bwe yategeezezza.