abavunaanibwa okutta aigp kaweesi beyimiriddwa

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala Lydia Mugambe olunaku olwaleero awadde bail abantu 8 abavunaanibwa okutta AIGP Kaweesi, ddereeva we wamu n’omukuumi we.
Bano bateereddwa ku kakalu ka Kkooti kabukadde 150 ezitali zawamu, wamu n’ababeyimiridde 3 buli omu nasabibwa obukadde 250 okubasobozesa okukomawo mu Kkooti. Bano bonna bagaaniddwa okufuluma eggwanga nebalagirwa okuwaayo mu kkooti Paasipooti zaabwe.
Omulamuzi agambye nti kiba kimenya mateeka okubakuumira mu kkomera gyebamaze emyaka ebiri nga ate baleese ababeyimirira.
Basatu ku 8 abateereddwa bavunaanibwa mu musango omulala og’okutta Maj. Muhammad Kiggundu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Kkolera y’akatta 3 e Kasese , 80 bapookya .