Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abavunaanibwa ogw’okutemula Maj. Kiggundu bazziddwayo e Luzira

March 10, 2017 · Mubiru Ali

Abayisiraamu bana abateeberezebwa okubaako kyebamanyi ku kuttibwa kwa Maj. Muhammed Kiggundu awamu n’eyali omukuumi we nga battibwa mu Museenene w’omwaka oguwedde,  bazzeemu nebasindikibwa ku Alimanda e Luzira okutuusa nga 24 ogwokusatu nga Police bwekyayongera okukola okunoonyereza ku nsonga eno.

Omulamuzi w’eddaala erisooka  mu kkopti yooku luguudo Buganda, Susan Anyeko ategeezeddwa oludda oluwaabi olukulembeddwamu Emilly Ninsiima nti Police ekyetaaga obudde obumala okukola okunyereza kwebaliko.

Abantu bano abavunaanivbwa kuliko Amir w’omuzikiti gw’e Nakasero Sheikh Ramathan Mwanje, abavuzi ba Bodabpda babiri okuva ku ssiteegi y’e Kyengera – Nsangi okuli Muhammad Buyondo ne Abdul Wahab Ssendegeya okwo nga kwotadde n’omusuubuzi Musa Ssekandi.

Abavunaanibwa bano bateeberezebwa okuba nga baliko kyebamanyi ku kutemulwa kwa Maj. Muhammad Kiggundu awamu n’eyali omukuumi we Sgt. Stephen Mukasa abaattibwa nga 26 Museenene omwaka oguwedde mu kabuga k’e Masanafu ekiri mu Ggombolola y’e Lubaga mu Kampala.