Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,206 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Abavunaanibwa ogw’okugezaako okumaamulako Gavumenti bakyatoba

January 18, 2018 · Mubiru Ali

Kkooti enkulu mu Kampala ataddewo olunaku lw'egenda okuwulira omusango gw'abayisiraamu amakumi abiri (20) abavunaanibwa ogw'okugezaako okumaamulako Gavumenti. 

Olwaleero abantu bano (20) babadde baleeteddwa mu maaso g'omulamuzi Wilson Masalu Musene okuva ku alimanda e Luzira wabula omusango gwabwe negutasobola kuwulirwa nga bwekyali kiragiddwa wabula omulamuzi ataddewo olunaku olulala olwa nga 19 Mukutulansanja omwaka guno lw'agenda okuguwulira era n'ategeeza oludda oluwaabi okufuba okulaba nga abajulizi weebali.

Mu musango guno, oludda oluwaabi lugamba wakati wa Ssebaaseka wa 2013 n'owa 2015 abantu bano nga basinziira mu bifo eby'enjawulo omuli e Dubai, Kenya ne Tanzania beekobaana okuggyako Gavumenti nga bakozesa emmundu