Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 309 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM

Abavunaanibwa emisango gya nnaggomola bagikkirizza

August 22, 2016 · Mubiru Ali

Abantu abali mu nkaaga ababadde bavunaanibwa emisango gya naggomola omuli; abasobya ku baana abato,  obutemu, obwakkondo n’emirala omuli abasobya ku bakyala olw’empaka, leero bakkirizza nti emisango gino baagizza .

Bano okukkirizza kino babadde mu kkooti enkulu mu Kampala nga bayide mu nteegeeragana etuukiddwako wakati waabwe n’ekitongole ekya Justice Law and Order Sector era bano okukkiriza emisango gyabwe basaliddwa  ebobonerezi ebisaamusaamu omuli okusibwa omwaka gumu , ebiri , kkumi n’ebirala , nga bino bibaweereddwa omulamuzi Wilson Masalu Musene .

Ab’ekitongole kino bagamba nti enteekateeka eno ekoleddwa okusobola okukendeeza omujjuzo mu makomera .