Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 301 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abavubuka tuli ba mirembe, mutuwe abantu baffe – Fik Fameica

March 20, 2021 · Mubiru Ali
MUTUWE BAVUBUKA BANAFFE:
Omuyimbi Shafik Walukagga aka Fik Fameica; “Abakulembeze baffe bebatulagajjalira nebatulemesa so ssi bavubuka banaffe. Ekyenaku abantu bemugamba nti bafujjo, babadde kyakulabirako ky’amaanyi eri Bannayuganda bangi nga nabamu ku mmwe mubalabiddeko. Tuli muntu omu mukijjukire yadde abamu berabira nti bantu, abantu abawambibwa buli lukedde Bannayuganda n’ababawamba Bannayuganda! Yiiyi! Lwaki tetulekerawo okulinyirira eddembe ly’obuntu? Kuno kwekwaffe teri walala. Mulekerawo okuwamba Bannansi.
Bannayuganda mwenna mumanye bwetuli sibwetusaanidde. Nabatono abasobola okusomako tebalina kyebakola, era mumanye nti ffe abalina okusituka netweyogerera mu ngeri gyetusobola. Bateeseza baani abatasobola kwogera nti abebyokwerinda bawamba ne baccunya abantu?
Lwaki amateeka agalina okuyamba abantu ate wano tegakola?
Tetulina njawulo ku bavubuka balala mu nsi yonna abaagala eddembe ly’obuntu!
Abavubuka bali kadde babeera betegefu okuwulira ekibagambibwa naye kino kyetugamba #MukomyeewoAbantuBaffe ate mujjukire tetulina tteeka lyonna lyetumenye kuba okwekalakaasa mu mirembe ddembe erituweebwa Ssemateeka. Tusisinkane”