abavubuka muve mutulo – Fr. Gaetano

Fr. Gaetano Batanyenda owa Parish y’e Kitanga mu Disitulikiti y’e Kabale avuddeyo n’asaba abavubuka bonna mu Ggwanga bave ku kwetuulako wabula baveeyo bennyigire mu by’obufuzi bya Yuganda.

Ono agamba nti mu bulamu wabaawo omutendera gw’okusikira bifo mu buli mbeera nti wabula Gavumenti ya NRM ne Pulezidenti Museveni befudde bannampulira zzibi nabwekityo abavubuka basaanye bazuukuke bakimanye nti Abakulembeze mu Ggwanga baagala nnyo okubakuumira webali nga tebalina mirimu, bennyamivu era nga tebalina webali. Nti era Gavumenti netegefu okubakuumira mu mbeera embi.

Eri Pulezidenti Museveni Fr. Gaetano amugamba nti bwatawa bavubuka mukisa ebiriddirira yenenyanga yekka. Ono agamba nti singa Pulezidenti Museveni naye bamulemesa teyandibadde Pulezidenti.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
abakozi ba gavumenti mubeere bagumu – Muluuli mukasa