abavubuka b’e lwengo batabuse lwa ssente

Wabaddewo akasattiro mu bavubuka b’e Lwengo aba bodaboda abagambibwa okulemesebwa okufuna ssente z’abavubuka obukadde 600 obwabaweebwa Pulezidenti Museveni zibayambeko okwekulaakulanya ekibaviiriddeko okugumba ku kitebe kya disitulikiti nga balaga obutali bumativu.
Poliisi y’e Lwengo ng’ekulembeddwaamu omuduumizi waayo, Felix Mugizi esobodde okuwa obukuumi abavubuka bano baleme okukolawo akatiisa nga bwe babadde bewera.
Abavubuka nga bakulembeddwaamu ssaabawandiisi w’abavubuka mu ggwanga era nga ye ssentebe w’abavubuka mu disitulikiti y’e Lwengo, Ibrahim Kitatta basoose kulemesebwa okwetaba mu lukiiko olw’ekyama olubaddemu abakungu okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu omubadde ne RDC, Jjuuko Kasiita nga muno ne bannamawulire tebakkiriziddwa kulwetabamu.
Wadde nga waabaddewo akatemerero okuva ku kitebe kya disitulikiti, abavubuka we baabadde bagumbye okugenda ku kizimbe ky’Obwapulezidenti awaabadde olukiiko luno, abavubuka tekyabalobedde kukozesa bidduka byabwe ne basalawo okutambuza ebigere mu ngeri gye bayise ey’okwekalakaasa okw’emirembe.
Bano baasanze ekiginji ky’abaserikale abaasoose okubalemesa okuyingira geeti y’ekizimbe kino n’oluvannyuma ne bakkirizibwa okulindirako abakungu bano mu kisenge ekikusike ekyabatwalidde ebbanga eriwerera ddala nga tebannaba kuddibwamu.
RDC, Jjuuko Kasiita oluvannyuma lw’olukiiko lwe baabaddemu n’abakungu bano, yagumizza abavubuka n’abategeeza nga buli bibiina by’abavubuka ebyawandiisibwa bwe biteekeddwa okufuna omutemwa gwakyo n’alabula bannabyabufuzi okukomya okwetuuma amannya ku bintu bya Gavumenti.
Ssentebe Kitatta asiimye olw’okuddibwamu kw’ayise okulungi wabula n’awa nsalesale wa nnaku 10 nga bamaze okufuna ssente z’abavubuka wabula n’asambajja ebyogerwa nti abavubuka abazze okulaga obutali bumativu bwabwe nti bavudde wabweru wa Lwengo n’ategeeza nga ebyobufuzi by’e Lwengo nga byetobeseemu ebirala ebijja biyitimuka buli lukya nga bivuddeko okuserebya ebyenfuna bya Bannalwengo.
Kigambibwa nti ebibiina by’abavubuka aba bodaboda bye bivuddeko omuziziko gw’ebibiina ebirala okufuna ensimbi zaabwe okukwatibwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Those who say let him go, this is not the right time – Museveni.