Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 264 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abavubuka ba Buganda bawanjagidde Gavumenti eveeyo ku ttemu erikolebwa ku bannansi

December 29, 2020 · Mubiru Ali

Abavubuka ba Buganda bawanjagidde Gavumenti eveeyo ku ttemu erikolebwa ku bannansi

Mu ngeri yeemu bagisabye efulumye alipoota ku butemu buno

Okwogera bino babadde mu kulambula amasaza ga Buganda agakola ebbendobendo lya greater Mpigi, omuli Mawokota, Butambala ne Gomba, okututte ennaku ssatu.

Bwabadde ayogera mu nsisinkano ne Maama wa Mugerwa Godfrey eyali amanyiddwa nga “Maliba” era omutandisi w’ekibiina kya Kabaka Mwennyango eyattibwa mu ngeri etaategeerekeka, Ssentebe wa Buganda Youth Council Baker Ssejjengo, agambye nti,

“Tusaba gavumenti efulumye alipoota ku kutemulwa kwa Maliba n’abantu abalala bonna abatemuddwa nga alipoota tezifulumizibwa.”

Yye Maama wa Maliba yeekokkodde embeera embi gyayitamu ne bamulekwa bukya mutabani we atemulwa nga ne gye buli eno tewali ssuubi lya bwenkanya.

Abavubuka era bavumiridde amaanyi agasusse agakozesebwa abakuuma ddembe mu kulambika entambula z’abesimbyewo ku bwa Pulezidenti. Kino nno kiviiriddeko bannansi okufiirwa obulamu n’abandi okufuna obuvune. Basabye abo abakola ebyo bakwatibweko n’omukono ogwekyuma.

Ssentebe wa Buganda Youth Council agumizza abavubuka yonna gye bayise nti Obwakabaka bulondoola bulungi bye bakola. Abakubirizza okwongera amaanyi mu buweereza okusobola okuzza Buganda ku Ntikko.