Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 226 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abavubuka abagambibwa okukuba omulamuzi Kamasanyu obuccupa bakwate

August 3, 2019 · Mubiru Ali

Kkooti ya Buganda Road olunaku lw’eggulo yabaddemu katemba atali musasulire oluvannyuma lw’abawagizi ba Dr. Stella Nyanzi okutambuka olw’omuntu waabwe okumibwa omukisa gw’okuwa engasi omulamuzi Gladys Kamasanyu ow’eddaala erisooka nebatandika okumukassukira obuccupa wamu n’okumuvuma.

Abakwatiddwa kigambibwa bavubuka okuva mu kibiina Forum for Democratic Change okuli; Augustine Ojobile, Abudalla Waiswa, Joel Kabali, Simoni Wanyera, Fatuma Abenabyo ne Moses Katumba. Poliisi egamba nti bano bakuvunaanibwa emisango okuli ‘contempt of court’ ne ‘assault’.