Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 201 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abavubi babiri batiddwa ku mwalo gw’e Kyakapere

May 7, 2019 · Mubiru Ali

Abazigu abatanategeerekeka balumbye omwalo gwe Kyakapere mu Nkondo Parish Kyangwali Sub County mu Disitulikiti y’e Kikuube nebatta abavubi 2. Abatiddwa kuliko Kelvin Ochircan ne Thotho Piyesu.

Bano balumbye omwalo guno ku ssaawa munaana ogw’ekiro nebateeka abatuuze ku mudumu gw’emmundu nebabba obukadde 100 okuva mu batuuze nebakuliita nazo.

Abavubi abamu baagezezaako okugoberera abazigu bano, wabula bwebakitegedde kwekubakuba amasasi nebatta 2.

Luii Penjonga, Ssentebe wa LC1 agamba nti abamu ku bantu ababiddwa ku mudumu gw’emmundu kuliko  Ajaruva ne Mumbere nga bonna basuubuzi ku mwalo gw’e Kyakapere.

Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi muttundutundu ly’e Albertine agamba  nti Poliisi yasindise dda abasajja baayo okukola okunoonyereza.