Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 237 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Abavubi 2 bafiiridde mu Nnyanja mu Amolatar

August 3, 2023 · Mubiru Ali
Kitalo!
Abavubi babiri okuli Moses Omara ne Innocent Oron ku mwalo gwe Nalubwoyo mu Disitulikiti ye Amolatar bafiiridde mu nnyanja oluvannyuma lw’eryato kwebabadde okubbira nga kino kyavudde ku muyaga omungi ogwakuunse negufuula eryato. Kitegeerekese nti eryato lino kwabaddeko abavubi basatu naye Sam Okullu yasobodde okusimattuka.
Omwogezi wa Uganda Police Force mu bitundu by’omumambuka ga Kyoga, Jimmy Patrick Otema akakasizza akabenje kano era n’ategeeza nti omubiri gwa Omara gumaze okuggibwa mu mazzi nga gwo ogwa Oron gukyanoonyezebwa.