Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abatuuze mu Nakaseke Central bekalakaasizza lwa luguudo

June 29, 2022 · Mubiru Ali
Abatuuze ku kyalo Lumpewe, Kamuli Parish, Kikamulo Sub-County mu Nakaseke Central bekumyeemu ogutaaka nebatandika okusimba ebitooke mu luguudo oluva e Kalule -Lumpewe-Kiwoko nga balaga obutali bumativu bwabwe olwembeera gyerulimu mu kaseera kano.
Emotoka ya Poliisi eyabadde ereeta abasirikale okuva ku Poliisi e Kiwoko okugumbulula abatuuze nayo yagudde mu kinnya neyoononeka.
Omubaka w’ekitundu kino Munnakibiina kya National Unity Platform Allan Mayanja Sebunya agamba nti kyandiba nga okwediima n’okwekalakaasa mu mirembe lwerulimi Gavumenti lwewulira. Ono agamba nti bajja kusigala nga balwanirira Bannayuganda okulaba nti bafuna obuweereza obusaanidde.