Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 307 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

ABATUUZE E GOMBA BATEMYE ABABAGOBA KU TTAKA

March 30, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze ababadde bataamye obugo e Gomba basazeeko abantu 3 emitwe ate abalala babiri nebabatemako emikono abalala 4 bali ku kitanda bapooca nabiwundu nga n’ebisolo ebisukka mu 50 bitiddwa.

Juma Mugerwa 21, nga kati ali mu ddwaliro e Mulago apooca agamba nti mutuuze w’e Kamuli Kireka B nga waliwo omugagga ayitibwa John Ogwang eyabakimye nga alina emirimu gyayagala bamalirize.

Ono yabagambye nga bwalina ettaka lye lya yiika 8 e Gomba ku kyalo Kasaka nga ayagala abatwale balime. Bweyabatuusizaayo yabagambye batandike okulima kuba yabadde agenda kulimirawo Kasooli.

Ono agamba nti babadde bakatandika okulima ekibinja ky’abantu ne kibazingako. Baagezezaako okudduka wabula ekibinja ne kitusimbako ne babakwata ne batandika okubatemaatema. Nga era obwedda babatema bwe babuuza nti ettaka kwe musaalimbira temumanyi nti liriko enkaayana?