Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 173 listening Simba FM Live

Abatuuze e Gala bakubye omusirikale wa UPDF

May 29, 2020 · Mubiru Ali

Maj. Robert Nkwasibwe owa National Leadership Institute – Kyankwanzi ali mu Ddwaliro apookya nabiwundu oluvannyuma lw’abatuuze okulumba Patrol okwabadde kutambulira abasirikale ba Uganda Peoples’ Defence Forces wamu ne Uganda Police Force mu ttawuni y’e Gala bwebabadde bateekesa ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekya curfew. Abalumbye Abasirikale babadde mu bbaala nga banywa mwenge mubudde bwa ‘curfew’. Guno omulundi gwa 70 ng’abantu babulijjo bakuba abasirikale.