Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 85 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Abatuuze bookezza akatale lwakugobwa ku ttaka – Mubende

November 8, 2016 · Mubiru Ali

Emirimu gisannyaladde emisana gya leero mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende abatuuze bwebeekyaye nebateekera akatale omuliro ne baziba n’ekkubo mu kitundu olw’okugobwa ku ttaka.

Abatuuze bano abasukka mu lunaana baaku byalo ; Kisagazi , Kawololo , Kisagula , ebisangibwa mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende .

Bano beesuddemu jjulume nebateekera omuliro akatale k’ Abanyara konna ne kasaanawo kwogatta n’okuziba ekkubo lya Ngabano  – Butta bwebalitaddemu agayinja n’okulitemeramu agati .

Kwagala Juliet akulembeddemu banne ategeezezza nti nga abatuuze ,ekibaggye mu mbeera kwekulaba nga abakulembeze baabwe mu kitundu tebabafuddeko nga bagobwa ku ttaka kwebaludde ebbanga omugagga Samuel Bivanju .

Wabula ye Balongo Christopher omukiise w’eggombolola eno ku Disitulikiti e Mubende annyonnyodde nti atuukiridde RDC e Mubende n’amutegeeza  nga bwebagenda okukola ku nsonga zino ku lwokutaano lwa ssabbiiti eno.