Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 268 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

abatuuze bazibye ekubo e lubaga

March 21, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze ababeera mu Zzooni ya Kayanja Triangle esangibwa mu Lubaga baavudde mu mbeera ne baziba ekkubo eriyita ku Nnyanja ya Kabaka okubeera ebbi ennyo. Bano basiimbye ebitooke, emiti wamu n’okwookya ebipiira ekyalemesezza emmotoka okukozesa oluguudo luno.
Bano bagamba nti bamaze ebbanga nga balaajanira abakulembeze ba Munisipaali y’e Lubaga okuvaayo babakolere oluguudo luno naye nga besuulirayo gwa nnagamba.
Bagamba nti emotoka ziyitiridde okugwa ku luguudo luno olw’enfuufu ennyingi eluliko, nga ne gyebuvuddeko tulakita yalemererwa okwambuka akatunumba akali ku luguudo luno n’edda ekyenyumanyuma n’etomera ennyumba kwossa n’okumenya mutuuze munaabwe