Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 74 listening Simba FM Live

Abatuuze batiisatiisizza okwekalakaasa lwa bubenje – Bugiri

July 26, 2016 · Mubiru Ali

Abatuuze mu kabuga k’e Busowa akasangibwa mu Disitulikiti y’e Bugiri ku luguudo mwasa njala oluva e Iganga okudda e Tororo balaajanidde Gavumenti ebateere obugulumu ku luguudo awo mu kabuga kaabwe kisobole okutagira obubenje obumalawo abantu baabwe nga buva ku bidduka ebiyitawo ku misinde egya yiriyiri .

Bano mu mbunyiivu obw’ekitalo batiisatiisizza okwekalakaasa singa Gavumenti eneesuulirayo gwa nnaggamba kubanga kumpi buli wiiki mu kifo kyekimu wabaawo akoonebwa mmotoka  .

Kino nno kiddiridde omuyizi John Mudasiru  ng’abadde asoma kibiina kyakusatu okutomerwa emmotokka ebadde ku misinde egya yiriyiri ng’agenda ku ssomero n’afiirawo mbulaga .Kitalo.