Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 131 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abatuuze bateekedde ennyumba y’omusamize omuliro

October 12, 2018 · Mubiru Ali
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Binikiriro mu ggombolola y’e Katwe mu disitulikiti y’eSsembabule, abantu abatannategeerekeka bwe baggalidde omusamize Peter Kakooza mu nnyumba ye mu kiro ne bajikumako omuliro n’afiiramu.
Okusinziira Ku batuuze, Peter Kakooza y’abadde akulira abasawo b’ekinnansi mu ggombolola eno ey’e Katwe ng’agambibwa okwekobaana n’abalala ne batigomya ekyalo mu bikolwa by’obulogo.
Kigambibwa nti abantu bataano baalabiddwako mu kiro ku nnyumba ya Kakooza nga baasoose kufulumya muwala we eyategeerekeseeko erya Nalugo ne bamulemesa okukuba enduulu olwo ennyumba ye ne bajikumako omuliro.
Ssentebe w’ekyalo kino, Muhammad Sebandeke Mawanda yategeezezza nti abantu mu kitundu kino baludde nga bafiirwa abantu baabwe olw’obugo n’okubbibwa ng’omugenzi ateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa bino kyokka n’asaba abantu obutatwalira mateeka mu ngalo okutuusa nga bamaze okufuna obukakafu ku bigambo bya njwanjwa.
Poliisi okuva e Sembabule yatuuseewo n’embwa enkonzi y’olusu okusaggula abatemu kyokka tewali kyazuuliddwa.
Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi asabye abatuuze okubeera abakakkamu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.