Motoka y’omugagga agoba abantu ku ttaka eteekeddwa omuliro yonna n’esaanawo ekiwaliririza Poliiisi okukuba amasasi mu bbanga wamu n’omukka ogubalagala okugumbulula abantu.
Motoka eyokeddwa nnamba UAS 978A ekika kya Ipsum era nga eno ya Kaweesi George agambibwa okubeera nyini ttaka eriwezaako acres 600 kw’agoba abantu abasukka mu 300.
Abatuuze bano abagobwa ku ttaka bali ku byalo okuli Kambuye, Kikono, Kanseera, Kyabana ne Lwensanga ebisangibwa mu East Division mu Mubende Municipality be bavudde mu mbeera ne batekera emotoka eno omuliro nga nabo besasuza okusanyawo enyumba zabwe zonna, okusaawa Emwanyi, Ensuku, Muwogo wamu ne Kasooli ebikolebwa abakozi bo omugagga Kaweesi abasukka mu 150 beyayiwa ku ttaka lino nga babagalidde ejjambiya ne miggo.
Poliisi e Mubende nga eddumirwa DPC waayo Okoyo Martin bwerabye nga embeera etabuse netandiika okuwandagaza amasasi mu bbanga saako n’omukka ogubalagala okukakanya embeera nga abatuuze eno bwebagirangira obutabayamba ebbanga lyonna lye bamaze nga babatulugunya ku ttaka.
Ye Kaweesi George agambibwa okuba nyinyi ttaka lino agamba nti lirye nti era lya muguzibwa Lubega Wagwa.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.