Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 303 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

abatuuze batabukidde rdc

January 14, 2019 · Mubiru Ali

Hezekiah Mukiibi 72, ow’e Kito – Kira mu munisipaali y’e Kira yaddukidde ewa RDC ng’amusaba okuyingira mu nsonga z’ettaka lye ly’agamba nti baagala kulitwala nga bano kuliko; Alice Nabitosi, Timothy Mawomero, Yusuf Ssemakula n’abalala ng’agamba nti yeekubidde enduulu ku poliisi y’e Kira n’eya Jinja Rd. naye tayambiddwa nga n’ebintu bye byayonoonebwa okuli faamu, emiti n’amayumba kyokka ng’ensonga ziri mu kkooti.

RDC yayise enjuyi zombi ezikaayana mu kafubo ku kitebe kya Munisipaali y’e Kira era olwakavuddemu n’agenda nabo okulambula ettaka lino.

Oluvannyuma yakubye olukiiko ku nsonga eno wabula ne wabaawo abajjidde mu booludda olulwanyisa Mukiibi nga bano RDC olwabadde okutandika okwogera ne bamutabukira nti tasaanidde kutuula mu nsonga zaabwe kubanga mupya talina ky’azimanyiiko n’abalala nti Mukiibi yandiba nga yamuguze okubagobaganya.

Waabaddewo okuwaanyisiganya ebisongovu, RDC kwe kusalawo okuyiwa olukiiko.