Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 386 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Abatuuze bakukkulumira Ssentebe okwekobaana okubagoba ku ttaka

May 7, 2018 · Mubiru Ali

Abasuubuzi abawangaalira ku kyalo Kiwanga Mawoto mu Namanve Industrial Park okuliraana kkampuni  ya Coca-Cola basula bakukunadde nga lumonde mu kikata oluvannyuma lwa Ssentebe waabwe owa LC I,  Kabega Moses Mulinde okwekobaana n’abakkampuni esunda amafuta eya Shell Uganda okubasengula ku ttaka kwe bamaze emyaka egisoba mu abiri .

Kansala akiikirira omuluka gw’e Nantabulirirwa ku Munisipaali y’e Mukono , Robert Ssozi avuddeyo n’asaba aba Shell okuvaayo boogerezeganye n’abatuze bano.

Bbo abatuuze balumiriza Ssentebe waabwe Kabega Moses Mulinde okubasoloozanga obusuulu ate kati bamwewuunya okubagoba.

 Ye Ssentebe ayogerwako asambazze ebyogerwa abatuuze n’agamba nti bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa Ngo.