BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Abatuuze badduse ku byalo lwa Police na magye

Abatuuze ku byalo bisatu e Mubende babunye emiwabo Police n’amagye bwebiyiiriddwa mu kitundu era nga kati bangi ku bo baliira ku nsiko. 

Bino bibadde ku byalo okuli, Kawololo, Kisagula, Kisagazi ebiri mu muluka gw’e Kisagazi mu Ggombolola y’e Butoloogo mu  Disitulikiti y’e Mubende.

Kansala akiikirira Omuluka gw’e Kisagazi,  Japhali Kayongo Ssebuliba ategeezezza Simba nti embeera ebasobedde nabo okulaba nga abaserikale ba Police n’amagye abasukka mu 100 bayiiriddwa mu kitundu kino n’ekigendererwa eky’okukuuma omugagga ababbako ettaka, Bivanju  Samuel nga ayelula empenda z’ettaka.

Kino kiviiriddeko abatuuze mu kitundu kino okudduka ku byalo nebisigala nga byereere olw’okutya.

Wabula ye aduumuira Police e Mubende, Byaruhanga Patrick ategeezezza nti ddala kituufu abaserikale bayiiriddwa mu kitundu kino nga bassa mu nkola ekiragiro kya kkooti, okuwa obukuumi Samuel Bivanju okwelula ettaka lye erisangibwa mu kitundu kino.

 

 

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply