Abatuuze ababadde bataamye obugo basse omukazi lwa bulogo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kangume Santrina akubiddwa emiggo egimuse ku kyalo Kafunjo e Kashambya mu Rukiga District nga bamulanga okuba omulogo. Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kye Kigezi Elly Maate agambye nti kituufu ono yatiddwa nga bamulanga okuba nti yeyaviirako okufa kwa Gideon Tayebwa nga 1 – july.

Ono bamusanze yekwese ewa Maama we ku kyalo Kanyabugunga nebatandika okumukuba era bagenze okumutuusa ku kyalo gy’abadde abeera nga amaanyi gamuwedde bwatyo nakutuka n’afa.

Maate agamba nti Poliisi yakutte abasajja babiri abakulemddemu abatuuze nga kuno kuliko Andrew Arinaitwe ne Richard Twesigomwe bagiyambe mukunoonyereza.

Share.

Leave A Reply