Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 168 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abatuuze 2000 boolekedde okufa enjala lwa kusaanyaawo mmere yaabwe – Mubende

April 26, 2017 · Mubiru Ali

Abatuuze abasoba mu 2000  mu Disitulikiti y’e Mubende boolekedde okutodoka enjala olwa nannyini ttaka asaanyaawo emmere yaabwe yonna. 

Bano abali ku kanaayokyani batuuze ku byalo okuli  Kiryajjobyo, Bukyonjo, Kawalala nga byonna bisangibwa mu ggombolola y’e  Kitumbi mu Disitulikiti y’e Mubende.

Nyangabo Aron, Nkwatirire Ismail bategeezezza nti emmere yaabwe yonna okuli Mawogo,e Bitooke , Lumonde ne Kasooli abakozi b’omugagga babisaanyizzaawo ku biragiro by ‘ omugagga kino nno nekiviirako abatuuze okusigala nga tebalina kakuzza eri mumwa.

Ye Ssewankambo Ivan owa IVYS Logistics Limited eyakwasibwa okuddukanya ettaka lino ategeezezza nti baatuuka ku nzikiriziganya n’abatuuze abali ku ttaka lino nti bagenda kugabanira wakati ettaka lyebaliko okusobola okwegula basigazeeko ekitundu naye bano kyebalemeddwa okuteeka mu nkola