Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 189 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Abatunda enseenene mulina okufuna certificate – UNBS

December 12, 2023 · Mubiru Ali
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu Ggwanga ekya Uganda National Bureau of Standards (UNBS) kisabye abo bonna abatunda enseenene n’ebiwuka ebirala ebiriibwa okufuna satifikeeti okuva mu UNBS okukakasa nti ebyo byebatundu tebirina bulabe eri abo ababirya.
Mu mwaka gwa 2022, UNBS yatongoza emitendera egiyitibwa Edible Insects Standard, US 2146:2020 Edible Insects –Specification, ngekolerera wamu ne Makerere University School of Food Technology, Nutrition and Biosystems engineering (Food Science) n’obuwagizi okuva mu International Centre of Insect Physiology and Ecology (ICIPE), okusobola okutumbula okutundibwa kw’ebiwuka.
Mu nkola eno wateekebwawo ebintu ebirina okutunuulirwa nga ebiwuka bino biggibwamu ebintu ebirala ebiramu n’eddagala ebiteetaagibwa ebiyinza okufuula ebiwuka bino ebyobulabe ebibigendamu bwebaba babikwata, babiteekateeka wamu n’okubitambuza.
UNBS ekubiriza abavunaanyizibwa ku byobulamu mu Ggwanga okubeera obulindaala okulaba nti abakwata ebiwuka bino tebabiteekamu bintu byabulabe.