Abatulugunya abavuganya Gavumenti mubavunaane – Katikkiro

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Gavumenti eveeyo ewozese abo abatulugunya wamu n’okutta Bannayuganda naddala ab’oludda oluvugivuganya nga bwekyalabikidde ku Mubaka wa Mityana Municipality MP Zaake Francis Butebi. Agamba nti okuleetawo emirembe mu bantu kyekyatwala Gavumenti eriko mu nsiko, naye ate emirembe girabika nga gibuze olw’ettemu erisusse.
Okwogera bino, Katikkiro abadde ayogerako eri Obuganda okuwa entambuza y’emirimu wetuuse mu Minisitule n’ebitongole by’obwakabaka.

Share.

Leave A Reply