Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 406 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abatemu abasse Kaweesi tugenda kubatta – Pulezidenti Museveni

March 20, 2017 · Mubiru Ali

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agamba nti abatemu abasse Andrew Felix Kaweesi abadde omwogezi w’ekitongole kya Police ya Yuganda, Gavumenti yaakubayigga nabo ebatuuse ku kyokya nga ebatta.

Pulezidenti Museveni yabadde ayogerera mu kukunguba wali mu maka g’omugenzi Kaweesi e Kulambiro  akawungeezi akayise nga geesudde akabanga mpa wekaaga okuva omugenzi weyattirwa ku makya g’olwokutaano.

Agamba nti kino kyekiseera abazigu bano gyebeekukumye bakukunukeyo beeweeyo mu mikono gya Gavumenti oba ssikyo Gavumenti egenda kubeenoonyeza ebamize omusu.

Wabula era Museveni  agamba nti abatemu okutuuka okwegiriisa bati batuuke okukola ebikolwa eby’ekko mu ggwanga, oluusi kiva ku bakozi ba Gavumenti abagipeeka omusala enkya n’eggulo nebatuuka okulemesa Gavumenti okutuukiriza ebigendererwa byayo omuli n’okuteeka Kkamera enkessi mu bifo ebitali bimu ezandisobodde okulaba abakola ebikolwa bino.

“Abakozi ba Gavumenti, mbasaba mwenenye Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutuuka, buno obwa nnaasiwa mu kange bukome, eggulo nalagidde Kkamera zitandike okuteekebwa mu bifo ebyenjawulo mi ggwanga era sseetaaga Muntu ataataaganya kino”.  Pulezidenti Museveni agamba.