Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,007 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abatembeeyi bongedde okweyiwa ku nguudo mu Kampala

August 11, 2017 · Mubiru Ali

Abatembeeyi mu Kampala bongedde okweyiwawo oluvannyuma lw’ebikwekweto by’ekitongole kya KCCA okuyimiriramu. 

Kino kijjidde mu kiseera nga KCCA yayimirizza ebikwekweto byayo oluvannyuma lw’omukyala omutembeeyi  Olivia Basemera okugwa mu mwala olwokutaano lwa ssabbiiti ewedde nga aba KCCA bamugobaganya n’afiiramu.

Nabwekityo okufaakwe kwaviirako abantu bangi nga mwotwalidde ne bannabyabufuzi okukukkulumira KCCA olw’okukozesa amaanyi amangi ng’egobaganya abatembeeyi.

Kino nno kiwadde omwagaanya abatembeeyi okweyiwa ku nguudo mu Kampala ekinyiizizza ennyo ab’amaduuka era nebagamba nti nabo bagenda kuyiwa ebintu byabwe ku nguudo kubanga tebakyatunda wadde.