Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 125 listening Simba FM Live

Abatembeeyi batadde Kampala ku bunkenke

October 25, 2016 · Mubiru Ali

Police wamu n’abakwasisa amateeka mu kitongole kya KCCA bagezaako okusindiikiriza abatembeeyi abakyalemye okwakuka enguudo za Kampala.

Omusasi wa Luboggola Simba Ernest Kayanja atuuseeko mu kibuga era n’atutegeeza nti kino kiddiridde abasuubuzi abakolera mu maduuka okwemulugunya ku batembeeyi nti babalemesa okukola emirimu obulungi .

Ayongerako nti embeera ekyali ya bunkenke mu kibuga Kampala naddala okuliraana ppaaka enkadde era nga Police eyungudde abawanvu n’abampi ssaako ebimotoka bya Police okusobola okutangira embeera eyinza okuvaako entokotoko.