Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 117 listening Simba FM Live

Abatembeeyi babiri bakirizza omusango gwokweyita Hamis Kiggundu

May 15, 2025 · Mubiru Ali
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi asingisizza omutembeeyi Frank Sempa omusango gwokweyita kyatali wamu nokufera era namulagira asasule engasi ya mitwalo 60 bwezimulema asibwe omwaka gumu. Ate munne bwebavunaanibwa Babu Maniharah, aladiddwa okusasula engasi yamitwalo 30 oba okusibwa emyezi 6 mu kkomera.
Bano bakwatibwa kubigambibwa nti baali beyita Hamis Kiggundu era nebakiriza omusango nebasaba bateese n’omuwaabi wa Gavumenti abawe ekibonerezo ekisaamusaamu.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe