Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 283 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Abategesi b’ebivvulu mwegendereze – CP Enanga

March 1, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Poliisi mu ttunduttundu lya KMP North ne Nansana Division eyise abategesi b’ekivvulu kya Ssenga Mulongo Babirye, ekyabadde ku Holly Farm Hotel, e Nansana, nga tebafunye lukusa okuva ewa RPC oba DPC.
Okusinziira ku kifo kya Woteeri, ebbanga eririwo lyabadde terimala kutuuza bantu 6000 n’abagenyi wamu n’ekifo awateekebwa emotoka.
Abategesi ku Holly Farm wamu ne Ssenga Mulongo Babirye, tebabadde nateekateeka ku ngeri gyebayinza okutaasaamu abantu singa wabaawo obuzibu bwonna wamu ne parking.
Tuzze tulaba abayimbi n’abazinyi nga benyigira mukusikiriza abadigize okukola ebikolwa ebyakabenje ku siteegi ebiyinza okuviirako abawagizi okutabuka omuli okweyambulira ku siteegi n’oluvannyuma nebabuuka nebaggwa mu bawagizi.
Nabwekityo twagala okujjukiza abategesi b’ebivvulu wamu ne bannanyini bifu okuli woteeri nti balina okufaayo okukoma ku badigize okwewala ebiyinza okuvaamu.”