Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 724 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

ABATEBEREZEBWA OKUBAAKO KUKUTEMULWA KWA ANDREW FELIX KAWEESI BALABISEEKO MU KKOOTI

May 18, 2017 · Mubiru Ali

Abantu amakubi abiri abateberezebwa okubaako kyebamanyi kukutemulwa kwa Andrew Felix Kaweesi bebalabiseeko mu Kkooti e Nakawa okusomerwa omusango. Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Nakawa Noah Ssajjabi azeemu nabasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga 1 – June – 2017 oluvannyuma omuwambi wa gavumenti Joyce Anyango okutegeeza kkooti nti poliisi ekyakola okunoonyereza.

Bano bawerenemba n’emisango ettaano egyekuusa kukutemulwa kwa Kaweesi, eyali omukuumi we Erau ne dereva wa Wambewa, emisango egyekuusa ku bikolwa ebyobutujju ssaako nokugezaako okubisa eryanyi.

Oludda oluwabi lugamba nti omusango guno gwazibwa nga 17-March-2017 mubudde obwokumakya e Kulambiro kunkigizi z’ekibuga Kampala wababakubira amasasi.