Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 289 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abatamanyangamba batemyetemye omwani n’omukyala .

December 22, 2015 · Mubiru Ali

Gabadde maziga na kwaziirana ku kyalo Lugala mu gombolola ye Kitenga mu Disitulikiti ye Mubende, abasajja abatategeerekese bwebatemyetemye omusajja Turyamureeba Leonard ne mukyala we ategeerekeseeko erya Mugole , babatemye nebafuuka bulere.

Kiteeberezebwa nti bano babadde baakungudde kasooli ne bamutunda nga bafunye ensimbi nga kirabika abazigu baazibasabye nebagezaako okuziremera .

Kinajjukirwa nti kati baweze abantu 6 abaakattibwa mu bbanga lya mwezi gumu .

Police eggyewo emirambo n’egitwala mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mubende era nga wetwogerera police ebakanye n’ogwokuwenja abajambula bano .

 

Lino litusakiddwa Kimaze Expedito ย e Mubende .