Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 268 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Abataka boolekedde Namibia okulaba ku Kabaka

July 3, 2024 · Mubiru Ali

Abataka ba Buganda nga bakulembeddwamu Kyaddondo Kasirye Mbugeeramula (Nvuma), Mawesano Deus Kyeyune (ŋŋaali), Sheba Kakande (Ngeye), Erias Lwasi Buuzaabo (Ndiga), Godfrey Natiigo (Katikkiro w’Ekika ky’Olugave) ne Walusimbi Mbirozankya (Ffumbe) bagenze e Namibia gyebagenda okumala enaku 5 gyebagenze okukebera ku Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II.
Bano bagamba nti ekyabatutte kwekumalawo eŋŋambo ezibadde zitambuzibwa ku bulamu bwa Kabaka.
Wabula Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’amawulire okuva mu Buganda Owek. Israel Kitooke Kazibwe yategeezezza nti olugendo luno tebalumanyiiko nti era Abataka bakikoze ku lwabwe.
Ye Minisita Omubeezi owa ICT Joyece Ssebuggwawo Nabbosa agamba nti Abataka abagenze basaba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni abayambe asabe munne owa Namibia H.E Nangolo Mbumba abakirize okuyingira Eggwanga okugenda okulaba Kabaka.

Ekifaananyi nga Abataka batuuse e Windhoek, mu Ggwanga lya Namibia.