Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 697 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abasuula ebibaluwa tubagudde mu buufu – Kasingye Mwogezi wa Police

May 15, 2017 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole kya Police Asan Kasingye agamba nti baatandise dda okubuuliriza ku kibinja ky’abazzi b’emisango abeeyita ba Kabazzi nga bano bagenze batulugunya abantu mu  bitundu ebitali bimu mu ggwanga .

Abantu bano bagenda batiisa abantu ssaako n’okubasuulira ebibaluwa bi kirokitwala Omunaku naddala mu bitundu ebya Kampala n’emiriraano.

Enkola ey’okusuula ebibaluwa bino yatandikira mu bitundu bye Masaka era nga eno olwamalanga okubisuula nebakwata embazzi n’ebijambiya nebatemaatema abantu.

Kasingye agamba nti bano baagudde mu buufu era nti basinziira mu bitundu byomu Kibulooka e Nansana mu Wakiso nga gyebasinziira nebalumba ebitundu wabula nga bangi ku go bagombeddwamu obwala.