Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka, News: Eddogo mu bayimbi terigambika. Abegabya collabo tojja owedde. Amasaba gali e Makindye gasinga studio
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 181 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Abasuubuzi e Rukungiri bekalakaasizza , tebagguddeewo maduuka .

March 10, 2016 · Mubiru Ali

Abasuubuzi e Rukungiri beekalakaasizza era tebagguddewo maduuka gaabwe olwaleero mu kuwakanya enkola ya Gavumenti okusibira Dr. Kizza Besigye eyavuganyiza ku kaadi ya FDC mu kalulu ka 2016 mu makage agasangibwa e Kasangati mu Disitulikiti ye Wakiso .

Wabula Ssabiiti ewedde ayogerera FDC Ibrahim Ssemuju Nganda yalangirira okujeemera enteekateeka za Gavumenti nga nga bannakibiina bambala emijoozi emiddugavu buli lwakubiri n’okuggalawo emirimu gyabwe buli lwakuna olwa Police okutulugunya Besigye .

Na bwekityo enkya ya leero abasuubuzi ba nnannyini maduuka tebagguddewo maduuka gaabwe okuggyako abantu abatonotono ababadde batambulatambula mu kibuga . Tewalu dduuka ligguddwa ku luguudo lwa Karegyesa olusinga okubaamu emirimu emingi mu Municipali ye Rukungiri. Muno mulimu amaduuka agatunda ebizimbisibwa, eby’amasannyalaze n’amaduuka agasuubuza .

Bo abamu ku basuubuzi abatutumufu mu Rukungiri omuli  Ssonko Turyatemba , Batuma n’abalala bagamba nti wadde waliwo okutiisibwatiisibwa , baakwongera okugenda mu maaso n’okuggalawo amaduuka gaabwe buli lwakuna .