Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 319 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

ABASUUBUZI E LUKAYA BATABUKIDDE POLIISI

March 30, 2019 · Mubiru Ali

Abasuubuzi abatunda eby’okulya e Lukaya batabukidde Poliisi y’ebidduka nga bagamba nti ebassa obwavu nga bagobaganya ebidduka ebiba byagala okusimba mu kabuga k’e Lukaya okugula ebintu eby’enjawulo.
Ekyasinze okubatabula ky’ekiwandiiko ekyavudde eri omudduumizi wa Poliisi mu Kalungu ASP Tumwebaze Victor ngawera emotoka zonna ennetisi z’ebizito obutaddamu kusimba ku mabbali g’oluguudo nga era ezo ezitaagoberere kiragiro kino zakutemwako ennamba.