Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 319 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

ABASUUBUZI B’ENTE BAZIBYE EKUBO E LUKAYA

March 30, 2019 · Mubiru Ali

Abasuubuzi b’ente okuva mu bitundu eby’enjawulo okuli; Mutukula, Lyantonde, Mbarara ne Ssembabule beeridde omuguju olunaku lw’eggulo nebaziba oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kabuga k’e Lukaya mu Disitulikiti y’e Kalungu nga bagamba nti abakola ku gw’okukebera ebisolo ebiyisibwa mu kitundu kino basusse okubakana enguzi.
Bagamba nti waliwo ofiisa esusse okubakana ssente nga buli motoka agisolozaako ssente wakati we 5,000 – 10,000 okugikiriza okuyitawo kyokka nga negyebatikkira ente zino basasula nebaweebwa empapula eziraga nti embeera gyezirimu nnungi era zisobola okuliibwa.