Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,713 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Abasuubuzi bayimirizza akeediimo kaabwe – Kampala

April 10, 2018 · Mubiru Ali

Abasuubuzi boomu Kampala bayimirizza akeediimo kaabwe akabadde ak’okubaawo olunaku lwa leero.

Bano babadde baasalawo okuggala amaduuka gaabwe leero olw’ekigambibwa nti Gavumenti yalemererwa okuyingira mu nsonga z’okwekanama kw’ebisale by’amasannyalaze, engeri ey’okutulugunya abasuubuzi gyebakwatibwamu ekitongole ky’ebyemisolo ekya URA n’enkolagana eriwo wakati waabwe ne bannannyini bizimbe.

Okusinziira ku Ssentebe w’ekibiina ekitaba abasuubuzi mu Kampala Everest Kayondo, agambye nti baafunye amawulire amalungi okuva eri Gavumenti nga balina okugatuusa ku basuubuzi nga tebannasalawo kisembayo. Nabwekityo bayise olukungaana olw’awamu enkya nga 11 Kafuumuulampawu bategeeze abasuubuzi Gavumenti kyeyabagambye era babeeko ne kyebasalawo.