Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Abasuubuzi bagumbye ku kitebe kya Munisipaali lwa misolo – Mubende

July 21, 2017 · Mubiru Ali

Abasuubuzi e Mubende beekyaye nebagumba ku yafeesi za Munisipaali ya Mubende olw’omusolo omuggya ogwabagerekeddwa gwebagamba nti gususse obungi.

Bano omuli abatunda ; Amatooke, Lumonde, Muwogo, Amanda, Ennyama, ebyennyanja n’ebirala okwesitula okugumba ku yafeesi bakulembeddwamu Nakakaawa Rose ne Babirye Barbra era nga bano bakolera mu butale okuli akoomu kibaati n’aka Central Market.

Abasuubuzi bano bakukkuluma nti babatisse omusolo ogususse obw’omulamuzi nga luli babadde basasula 6000 babatadde 10.000 buli mwezi nga okwo kwogasse n’okubatonderawo omusolo omupya ogwa 80.000 eza bu ssitoowa mwebatereka ebintu.