Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 306 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Abasomesa bwemutadda ku mulimu tugenda kubagoba – PM Nabbanja

June 23, 2022 · Mubiru Ali
Rt. Hon. Robinah Nabbanja avuddeyo nanenya nnyo Abasomesa b’amasomo ga ‘Arts’ olwokuvaayo nebediima okusomesa abaana b’Eggwanga Yuganda nga bekwasa ekya Gavumenti okwongeza basomesa banaabwe aba ‘Science’ omusaala bo nebatalowoozebwako.
Ono agamba nti bano basaana bajjukire nti Gavumenti yabasasula omusaala gwabwe ggwonna okumala emyaka ebiri ensi bweyali erwanagana n’ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lumiima mawuggwe owa COVID-19 so nga baali tebasomesa. Nabbanja bano abasabye basooke bakakane Gavumenti emalirize banaabwe aba ‘Science’ n’abasirikale ba Poliisi n’oluvannyuma nabo yakubalowoozaako.