Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 274 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Abasoga basimbye nakakongo, teri kutunda Ripon Falls Hotel

September 1, 2016 · Mubiru Ali

Ab’ekibiina kya Busoga Public Accounts Commettee nga bano bagamba nti bavunaanyizibwa ku nsonga y’emmotoka z’obwanjulukufu obw’abakulembeze mu kitundu ekyo naddala mu by’ensimbi, bagamba nti basazeewo okwediima era nga kati baakakulungula  ennaku bbiri nga tebakomba ku ka mu ntamu olw’ekifo eky’ebyafaayo ekya Ripon Falls Hotel, nga kigambibwa nti waliwo Musiga nsimbi gwebaakiguza gyebuvuddeko.

Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Micheal Kuwanguzi nga bawera nga makumi 40 bagamba nti mu kifo kino eky’ebyafaayo baakamalawo ennaku bbiri, tebakomba ku ka mu ntamu, tebanaaba wadde okukomba ku mpeke y’otulo. Bano baliko n’ebipande obwaguuga byebakutte nga bagamba nti nebwekunaaba kufa ka bafe olw’ekifo kino eky’ebyafaayo ekyaggulwawo Nnaabakyala wa Bungereza mu 1954 bweyali azze okuggulawo ebbibiro ly’amasannyalaze erya Owen Falls Dam, era ssibaakuleka bulesi oli aggye atyagiwalire okwo nga batunula omukonga.