Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alambuddeko ku Emmanuel Kalidinaali Wamala, mu ttuntu lya leero, mu maka ge e Nsambya. News: Abantu abamu embezzi mugirya lwakugiwoomerwa, nze ngirya lwakwesasuza – Amos Mukhwana
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 85 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

abasirikale ba updf bafunye akabenje e Masaka

November 12, 2018 · Mubiru Ali

Abasirikale b’eggye ly’eggwanga erya UPDF bebawonye okufiira mu kabenje emotoka mwebabadde batambulira bweyabise omupiira ku luguudo lw’e Masaka neremerera omugoba waayo neyefuula.

Poliisi egamba nti emotoka ekika kya Land Cruiser nnamba B04BF 116 ebadde ewenyuuka buweewo nga eva mu Barracks y’e Makenke e Mbarara nga edda Kampala neyabika omupiira e Kabale Bugonzi bwetyo neremerera omugoba waayo neyefuula.

Abasirikale abalumiziddwa baduukiriddwa Poliisi ebatutte mu Masaka Regional Referral Hospital okufuna obujanjabi. Latif Zaake Regional Police Commander wa maserengeta agamba nti abalumiziddwa kuliko; Corporal Aluma Byajo, Pte Bernard Asega, Samuel Okumu Twaha, Joseph Odul , Gaadi Esati ne Corporal John Echuru nga bonna bava mu barracks y’e Makenke e Mbarara.