Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Gospel Show ▶ UP NEXT Ebifudde mu wiiki 9:00 AM - 12:00 PM
Now Playing · 274 listening Simba FM Live
gospel show photo

On Air

Gospel Show

Prossy Kyeswa

7:00 AM - 9:00 AM 7:00 AM - 9:00 AM
News

Abasirikale ba UPDF abasimatuse obulumbaganyi e Somalia batwaliddwa mu malwiro

June 6, 2023 · Mubiru Ali

SRCC ne Head of the African Union Transmission Mission (ATMIS) Ambassador Mohamed El-Amine Souef, wamu nakola nga Ambassador Uganda e Somalia, Maj. Gen. (Rtd.) Nathan Mugisha, ne ATMIS Force Commander, Lt. Gen. Sam Okiding bakyalidde ku basirikale abali mu kufuna obujanjabi oluvannyuma lwokulumba olwakoleddwa ku nkambi ya Buulo Mareer Forward Operating Base (FOB) mu Lower Shabelle Region.
Ambassador Souef agamba nti bano bagenda batereera era bavumu, ono era asaasidde nnyo abeŋŋanda zaabo abafiiriddwa abantu baabwe mu bulumbaganyi buno.
Commanding Officer wa Level II Hospital, Lt. Col. Dr. Godfrey Ssemakula Ngobya ategeezezza abakungu bano nti ababadde obubi batikiddwa ku nnyonyi nebatwalibwa mu malwaliro agali ebweru wa Somalia.
Akola nga Ambassador wa Uganda e Somalia, Maj. Gen. (Rtd) Nathan Mugisha, agamba nti eggye lya Uganda likyalina obuvumu era betegefu okutuukiriza ekiruubirirwa kya ATMIS wadde nga balumbiddwa.